Amas 27:39-40
Amas 27:39-40 BIBU1
Yizaake n'amugamba nti: “Ewala okuva ku bugagga bw'ettaka ekisulo kyo gye kinaabeeranga; ewala okuva ku musulo ogugwa okuva mu ggulu. Obulamu onoobuggyanga mu kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Obudde bulituuka ne weesimmattula, ekikoligo kye n'okyeyambula ku nsingo yo.”