1
LUKKA 21:36
Luganda Bible 2003
Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
השווה
חקרו LUKKA 21:36
2
LUKKA 21:34
“Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese
חקרו LUKKA 21:34
3
LUKKA 21:19
Olw'okugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu.
חקרו LUKKA 21:19
4
LUKKA 21:15
Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana.
חקרו LUKKA 21:15
5
LUKKA 21:33
Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
חקרו LUKKA 21:33
6
LUKKA 21:25-27
“Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo. Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa. Olwo ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu kire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene.
חקרו LUKKA 21:25-27
7
LUKKA 21:17
Abantu bonna balibakyawa olw'okuba muli bagoberezi bange.
חקרו LUKKA 21:17
8
LUKKA 21:11
Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu.
חקרו LUKKA 21:11
9
LUKKA 21:9-10
Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.” Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala.
חקרו LUKKA 21:9-10
10
LUKKA 21:25-26
“Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo. Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa.
חקרו LUKKA 21:25-26
11
LUKKA 21:10
Olwo n'agamba nti: “Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala.
חקרו LUKKA 21:10
12
LUKKA 21:8
Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga.
חקרו LUKKA 21:8
בית
כתבי הקודש
תוכניות
קטעי וידאו