Amas 9

9
1Katonda n'awa Nowa ne batabani be omukisa, n'ayogera gye bali nti: “Mwale, mweyongere, mujjuze ensi. 2Mujja kukuba entiisa mukankanye ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, byonna ebitambula ku lukalu n'ebyennyanja byonna mu nnyanja; byonna biweereddwa mu mikono gyammwe. 3Buli ekitambula ekiramu y'eriba emmere yammwe, kye kimu ne ku bimera, byonna mbibawadde. 4#Abal 7,26.27; 17,10-14; Et 12,16.23.Kyokka temulyanga ennyama erimu obulamu, kwe kugamba nti erimu omusaayi. 5#Okuv 20,13.Nzija kusabanga munyinnyonnyole ensonga olw'omusaayi gwammwe. Nzija kukisabanga ne ku buli nsolo. Buli muntu nzija kumubanjanga obulamu bwa muntu munne.
6 # 1,26. “Buli yenna aliyiwa omusaayi gw'omuntu,
n'ogugwe omuntu aliguyiwa;
kubanga omuntu Katonda yamukola mu kifaananyi kye.
7Nammwe mwale, mweyongere obungi,
mubune ku nsi, mweyongere ku yo.”
8Katonda n'agamba Nowa ne batabani be abaali naye nti: 9“Kati ŋŋenda okukola endagaano yange nammwe, n'ezzadde lyammwe eriribaddirira 10na buli kiramu kyonna ekiri nammwe: ebinyonyi, ebisolo by'awaka n'ebisolo byonna eby'oku nsi. Na buli kiramu kyonna ekifulumye mu kyombo, ne buli kiramu kyonna eky'ensi. 11Nzija kukola endagaano nammwe; ekiramu kyonna tekigenda kuddayo kusalwako mazzi ga mujjuzi, era teriddayo kubaawo mujjuzi gulisaanyaawo nsi.”
12Era Katonda n'agamba nti: “Kano ke kabonero k'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe n'ebitonde byonna ebiri nammwe. 13Ŋŋenda kussa musoke wange mu bire y'aliba akabonero k'endagaano gye nkoze n'ensi. 14Bwe nnaaleetanga ebire ku nsi, musoke n'alabika mu bire, 15nnajjukiranga endagaano yange nammwe na buli kiramu kyonna; tewalibeerawo mazzi ga mujjuzi mulundi mulala okuzikiriza buli kiramu. 16Musoke bw'aliba mu bire, ndimulaba ne nzijukira endagaano ey'olubeerera, wakati wa Katonda na buli kiramu kyonna ekya buli kika ekiri ku nsi.”
17Katonda n'agamba Nowa nti: “Kano ke kabonero k'endagaano gye nkoze wakati wange na buli kiramu kyonna ku nsi.”
D. OKUVA KU MUJJUZI OKUTUUKA KU ABURAAMU
Batabani ba Nowa
18Batabani ba Nowa abaava naye mu kyombo be bano: Seemu, Kaamu ne Yafesi. Kaamu ono ye kitaawe wa Kanaani. 19Abasatu abo be batabani ba Nowa, mu abo mwe mwava abantu abali ku nsi yonna.
20Nowa, eyali omulimi, n'asooka okusimba ennimiro y'emizabbibu; 21bwe yanywa ku vviini, n'atamiira, ne yeebaka mu weema ye nga teyeebisseeko. 22Kaamu kitaawe wa Kanaani bwe yalaba obwereere bwa kitaabwe, n'agenda, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23Bo Seemu ne Yafesi ne baddira olugoye, ne balussa ku bibegabega byabwe bombi, ne bajja kyennyumannyuma ne babikka ku kitaabwe, amaaso gaabwe nga bagatunuulizza eri, tebaalaba bwereere bwa kitaabwe. 24Nowa evviini bwe yamwamukako, n'amanya mutabani we asingayo obuto kye yali amukoze, 25n'agamba nti:
“Kanaani avumiriddwa.
Ku baganda be y'anaabanga omuddu asembayo.”
26Ate n'agamba nti:
“Omukama agulumizibwe, Katonda wa Seemu,
Kanaani abeere muddu we.
27Katonda agaziye Yafesi;
asulenga mu weema za Seemu,
ne Kanaani naye abeerenga muddu we.”
28Omujjuzi bwe gwaggwa, Nowa n'awangaalayo emyaka emirala bikumi bisatu mu ataano. 29Ebbanga lyonna lye yamala ku nsi ne giba emyaka lwenda mu ataano, n'afa.
Abantu baala ku nsi

Tällä hetkellä valittuna:

Amas 9: BIBU1

Korostus

Jaa

Kopioi

None

Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään