Amas 15

15
1 # 17,1-27; 12,2.7; 13,14-17. Oluvannyuma, Omukama n'alabikira Aburaamu n'amugamba nti: “Aburaamu, leka kutya. Nze ngabo yo, n'empeera yo eriba nnene nnyo.”
2Aburaamu n'agamba nti: “Mukama Katonda, olimpa ki? Wuuno ŋŋenda nga sirese mwana, n'omusika w'ennyumba yange ye Eliyezeri ow'e Damasiko.” 3Aburaamu n'ayongerako nti: “Wuuno tompadde zzadde, bw'atyo musajja wange y'anaaba omusika wange.” 4#17,16.21; 18,10; 21,2.Naye ekigambo ky'Omukama ne kimujjira nti: “Oyo si y'anaakusikira, wabula gwe weezaalidde yennyini ye w'okukusikira.” 5Era n'amufulumya ebweru n'amugamba nti: “Tunuulira eggulu; kale bala emmunyeenye oba osobola.” N'amugamba nti: “Ezzadde lyo bwe liriba lityo.” 6Yakkiriza Omukama; Omukama n'akimubalira ng'obutuukirivu.
7Era Omukama n'agamba Aburaamu nti: “Nze Mukama eyakuggya mu Wuru eky'Abakaludeya nkuwe ensi eno ebeere yiyo.” 8Ye n'agamba nti: “Mukama Omuyinza, nnaamanyira ku ki nga nzija kugifuna?” 9Omukama mu kwanukula n'agamba nti: “Nfunira ennyana ey'emyaka esatu, n'embuzi enduusi ey'emyaka esatu, n'endiga ennume ey'emyaka esatu, n'ejjiba n'enjiibwa.” 10Ebyo byonna n'abimuleetera, n'abisalamu wabiri wabiri, n'abissaawo nga buli kiwayi kitunuulidde kinne waakyo; byo ebinyonyi teyabibajjulamu. 11Ennyonyi enkwakkuzi zakkanga ku nnyama, naye Aburaamu n'azigoba.
12Enjuba bwe yali egwa, Aburaamu otulo otungi ne tumukwata, enzikiza ekutte ey'entiisa n'emujjira. 13#Ebik 7,6-7.Ne wabaawo ayogera gy'ali nti: “Tegeerera ddala nti ezzadde lyo liribeera mu nsi eteri yaabwe, balibafuula baddu, balibabonyaabonya okumala emyaka ebikumi bina. 14#Okuv 12,40.Kyokka eggwanga lye baliweereza mu buddu nze ndirisalira omusango; oluvannyuma balivaayo nga balina ebintu bingi. 15Kyokka ggwe oligenda mu ddembe eri bajjajjaabo, n'oziikibwa ng'owangadde bulungi. 16Mu zzadde eryokuna lwe balikomawo wano; anti n'okutuusa kati obwonoonefu bw'Abaamori buliba tebunafundikira.”
17Enjuba bwe yagwa, obudde ne bukwatira ddala; awo ne wabaawo ekkoomi erinyooka n'ekitawuliro ky'omuliro ekibumbujja nga kiyita wakati w'ebiwayi. 18#17,2.7.9-14.21.Ku olwo Omukama yakuba endagaano ne Aburaamu ng'agamba nti: “Ezzadde lyo ndiwa ensi eno okuva ku mugga gw'e Misiri okutuuka ku mugga omunene Furaati, 19Abakeni, Abakenizzi, Abakadumoni, 20Abakitti, Abaperizzi, ssaako Abarefayi, 21Abaamori, Abakanaani, Abagirugasi n'Abayebusi.”
Okuzaalibwa kwa Yisimayeli

Tällä hetkellä valittuna:

Amas 15: BIBU1

Korostus

Jaa

Kopioi

None

Haluatko, että korostuksesi tallennetaan kaikille laitteillesi? Rekisteröidy tai kirjaudu sisään