Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale okwenkana emmunyeenye z'eggulu, ne bazzukulu bo ndibawa ebitundu bino byonna, n'amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa, kubanga Yiburayimu yagondera eddoboozi lyange n'akwata bye namukuutira, n'ebiragiro byange, empisa zange n'amateeka gange.”