YOWANNE 7
7
Yesu ne baganda be
1Ebyo bwe byaggwa, Yesu n'atambula mu Galilaaya. Teyayagala kutambula mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta. 2Embaga y'Abayudaaya ey'Ensiisira yali eneetera okutuuka.#Laba ne Leev 23:34; Ma 16:13 3Baganda ba Yesu ne bamugamba nti: “Va wano ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe ku ebyo by'okola, 4kubanga tewali akweka ekyo ky'akola, bw'aba ng'ayagala amanyike mu lwatu. Ggwe nga bw'okola bino, leka ensi yonna ekumanye.” (5Ne baganda be bennyini tebaamukkiriza).
6Awo Yesu n'abagamba nti: “Ekiseera ekyange tekinnatuuka, naye ekiseera ekyammwe bulijjo kibaawo. 7Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye nze enkyawa, kubanga ngitegeeza nti ebikolwa by'ekola bibi. 8Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sinnatuusa kwambuka ku mbaga eyo, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.” 9Bwe yamala okubagamba ebyo, n'asigala mu Galilaaya.
Yesu ku Mbaga ey'Ensiisira
10Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si mu lwatu, wabula mu kyama. 11Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, nga beebuuza nti: “Ali ludda wa?”
12Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi ku ye mu bantu. Abamu nga bagamba nti: “Mulungi.” Abamu nga bagamba nti: “Nedda, akyamya abantu.” 13Kyokka olw'okutya Abayudaaya, ne wataba amwogerako mu lwatu.
14Awo mu makkati g'ekiseera eky'embaga, Yesu n'ayambuka mu Ssinzizo, n'ayigiriza. 15Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Ono amanyi atya ebingi bwe bityo, sso nga tayigangako?”
16Yesu n'abaddamu nti: “Bye njigiriza si byange, wabula by'oyo eyantuma. 17Buli ayagala okukola Katonda by'ayagala, alitegeera oba nga bye njigiriza biva wa Katonda, oba nga byange ku bwange. 18Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, wabula anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, aba wa mazima, era tabaamu bukuusa. 19Musa teyabawa Amateeka? Naye ku mmwe tewali akwata Mateeka ago. Lwaki musala amagezi okunzita?”
20Ekibiina ky'abantu ne kiddamu nti: “Oliko omwoyo omubi! Ani asala amagezi okukutta?”
21Yesu n'addamu nti: “Nakola ekikolwa kimu, mwenna ne mwewuunya. 22Kale Musa yabalagira okukomolebwa (newaakubadde tekwatandikira ku Musa, wabula ku bajjajjammwe). Ne ku lunaku lwa Sabbaato mukomola omuntu.#Laba ne Nta 17:10; Leev 12:3 23Oba ng'omuntu akomolebwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, lwaki nze munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato, n'aba mulamu ddala?#Laba ne Yow 5:9 24Mulekenga kusala musango nga musinziira ku bya kungulu, naye musalenga omusango, nga mugoba ensonga.”
Yesu Kristo
25Awo abamu ku bantu ab'omu Yerusaalemu ne bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta? 26Ate wuuno ayogera mu lwatu, era tebaliiko kye bamugamba. Ab'obuyinza bandiba nga bategeeredde ddala ng'ono ye Kristo? 27Naye ono tumanyi gy'ava, sso nga Kristo bw'alijja, tewali alimanya gy'ava.”
28Awo Yesu n'akangula ku ddoboozi ng'ayigiriza mu Ssinzizo, n'agamba nti: “Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo, sso sajja ku bwange, wabula oyo eyantuma ddala gyali, kyokka mmwe temumumanyi. 29Nze mmumanyi, kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.”
30Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka. 31Era bangi mu kibiina ky'abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti: “Kristo bw'alijja, alikola ebyewuunyo bingi okusinga ono by'akola?”
Abaserikale batumibwa okukwata Yesu
32Abafarisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo ne batuma abaserikale okumukwata. 33Awo Yesu n'agamba nti: “Nja kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke ŋŋende eri oyo eyantuma. 34Mulinnoonya, naye temulindaba, nga gye ndi mmwe temuyinza kutuukayo.”
35Awo Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ayagala kugenda wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya, naye temulindaba,’ era nti: ‘Gye ndibeera temuyinza kutuukayo?’ ”
Ensulo z'amazzi amalamu
37Ku lunaku olw'embaga olusembayo era olusingira ddala obukulu, Yesu n'ayimirira, n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Buli alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.#Laba ne Leev 23:36 38Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba, ‘Emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu mutima gwe.’ ”#Laba ne Ezek 47:1; Zek 14:8
39Ekyo Yesu yakyogera ku Mwoyo Mutuukirivu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, olw'okubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
Abantu baawukanamu
40Abamu mu kibiina ky'abantu ekyo bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bagamba nti: “Ddala ono ye mulanzi oli.”
41Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristo asibuka mu Galilaaya? 42Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era wa kuzaalibwa mu Betilehemu, ekibuga Dawudi mwe yali?”#Laba ne 2 Sam 7:12; Mi 5:2 43Awo ekibiina ky'abantu ne kyawukanamu olwa Yesu. 44Abamu ku bo ne baagala okumukwata, kyokka ne wataba amukwatako.
Obutakkiriza bw'abakulembeze b'Abayudaaya
45Awo abaserikale ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Bo ne bababuuza nti: “Lwaki temumuleese?” 46Abaserikale ne baddamu nti: “Tewali muntu yali ayogedde ng'oyo bw'ayogera!”
47Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Era nammwe abakyamizza? 48Mu bakulembeze, wadde mu Bafarisaayo, ani yali amukkiriza? 49Ekibiina ky'abantu kino tekitamanyi mateeka, era kikolimiddwa!”
50Nikodemo, omu ku bo, eddako eyagenda eri Yesu, n'abagamba nti:#Laba ne Yow 3:1-2 51“Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tebannaba kumuwozesa, n'okutegeera ky'akoze?”
52Ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe wava Galilaaya? Weetegereze ebyawandiikibwa, ojja kulaba nti e Galilaaya tesibuka mulanzi.” [ 53Buli muntu n'addayo ewuwe.
Currently Selected:
YOWANNE 7: LBwD03
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.