Katonda akuwenga ku musulo
oguva mu ggulu,
era agimusenga ennimiro zo.
Akuwenga eŋŋaano nnyingi
n'omwenge ogw'emizabbibu mungi.
Abantu bakuweerezenga,
n'amawanga gakuvuunamirenga.
Ofugenga baganda bo
n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga.
Buli akukolimira akolimirwenga,
era buli akusabira omukisa,
naye gumuweebwenga.”