YouVersion Logo
Search Icon

MANASSE 1

1
1Ayi Mukama Omuyinzawaabyonna,
Katonda wa Aburahamu,
ne Yisaaka ne Yakobo,
era ow'abazzukulu baabwe abatukuvu,#Laba ne 2 Byom 33:11-13,18-19
2ggwe watonda eggulu n'ensi,
n'ebirungi byonna ebibirimu.
3Ennyanja egondera ebiragiro byo,
n'etebooga kuva mu nsalo zaayo.
Obuyinza bwo ggwe oweekitiibwa
bukuumira obuziba bw'agayanja
mu kifo kyabwo.
4Bw'olaga obuyinza bwo,
ebitonde byonna bikankana!
5Obukulu bw'ekitiibwa kyo
tewali gwe butatiisa.
Obusungu bwo tewali
mwonoonyi abugumira.
6Naye ate ekisa ky'osuubiza
kingi nnyo tekitegeerekeka
wadde okupimibwa.
7Ggwe Mukama Atenkanika
oli mugumiikiriza, ow'ekisa
era omusaasizi.
Okkakkanya ku kibonerezo kyaffe
ng'olaba bwe tubonaabona
olw'ebibi byaffe.
Ayi Mukama, olw'obulungi bwo
n'ekisa kyo ekingi,
osuubiza okusonyiwa n'okulokola
abeenenya ebibi byabwe
bye baakusobyamu.
8Ggwe ayi Mukama,
oli Katonda w'abakola ebituufu.
Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo
baali tebeetaaga kwenenya,
kubanga tebaakola bibi mu maaso go.
Naye nze omwonoonyi
wansobozesa okwenenya.
9Nakola ebibi bingi
okusinga empeke z'omusenyu
ku lubalama lw'ennyanja.
Bingi nnyo, ayi Mukama,
Biyitiridde obungi!
Nasobya nnyo,
sisanira na kuyimusa maaso
kutunuulira ggulu lyo.#Laba ne 2 Bassek 21:1-18
10Nzitoowereddwa ebibi byange:
olujegere lwabyo olw'ekyuma lumpese.
Sirina kuweerako kubanga nakunyiiza.
Nakola ebikunyiiza
nga nteeka buli wantu
ebifaananyi ebisinzibwa.
11Naye kaakano neetoowaza
mu mutima ogwenenyezza,
nga nkusaba onkwatirwe ekisa.
12Nayonoona ayi Mukama, nasobya nnyo.
Njatula ebibi bye nakola.
13Ayi Mukama, nkwegayiridde, nsonyiwa.
Tonsaanyaawo olw'ebibi byange,
tonsunguwalira kagenderere,
wadde okunterekera ekibonerezo.
Tonsalira gwa kukkirira emagombe,
kubanga ggwe ayi Mukama
osonyiwa abeenenya.
14Ndaga bw'oli omulungi,
ondokole olw'ekisa kyo,
newaakubadde nga sisaanira,
15ndyoke nkutendereze
mu bulamu bwange bwonna.
Ab'obuyinza bonna ab'omu ggulu
bakutendereza,
era ekitiibwa kyo
kya mirembe gyonna.
Amiina.

Currently Selected:

MANASSE 1: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in