YouVersion Logo
Search Icon

1 ESIDERAASI 9

9
1Awo Ezera n'ava mu luggya lw'Essinzizo, n'ayingira mu kisenge kya Yehohanani mutabani wa Eliyasibu, 2n'asula eyo ng'anakuwadde olw'abantu okumenya Amateeka. Teyalya wadde okunywa.
3Ne batuma mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna okuyita bonna abaava mu busibe, bakuŋŋaanire mu Yerusaalemu, 4ng'abakulembeze b'abantu balagidde nti atalituuka mu bbanga lya nnaku ssatu, ebintu bye binyagibwe era agobwe mu kibiina.
5Mu bbanga ery'ennaku essatu, abasajja bonna ab'omu Kika kya Yuda n'ekya Benyamiini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemu ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi ogw'omwenda. 6Ne batuula mu luggya lw'Essinzizo, nga bakankana olw'empewo, kubanga bwali budde bwa butiti.
7Awo Ezera n'ayimirira n'abagamba nti: “Mwasobya ne muleetera Yisirayeli omusango nga muwasa abakazi abagwira. 8Kaakano mwogere amazima, mwatulire Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, ebibi byammwe, 9mukole by'asiima. Mweyawule ku b'amawanga amalala abali mu nsi yaffe, era mwawukane ne bakazi bammwe ab'amawanga ago amalala.”
10Abantu ne baddamu mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Tujja kukola buli ky'otugamba. Naye tuli bangi ate obudde bwa butiti. Tetuyinza kubeera wano ebweru bwe tuti. 11Eno si ye nsonga gye tuyinza okutereeza mu lunaku olumu oba mu nnaku ebbiri, kubanga bangi mu ffe abali mu kibi ekyo. 12Kale abakulembeze baffe be baba basigala mu Yerusaalemu. Olwo buli alina omukazi ow'eggwanga eddala, ajje mu kiseera ekinaateekebwawo, 13wamu n'abakulu era n'abalamuzi ab'omu kibuga kye, okutuusa lwe tulyeggyako obusungu bwa Katonda olw'ekyo kye twakola.” 14Awo Yonataani mutabani wa Asaheeli ne Yazeya mutabani wa Tikuva ne beewaayo okukola omulimu ogwo, Mesullamu ne Leevi ne Sabbetaayi ne babayambako.
15Abaava mu busibe ne bakolera wamu ku nsonga eyo. 16Ezera kabona n'alonda abasajja mu bakulu b'ekika, n'abawandiika amannya gaabwe. Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'ekkumi ne batandika okubuuliriza, 17era mu bbanga lya myezi esatu ne babuuliriza mu nsonga z'abalina abakazi ab'amawanga amalala.
Abasajja abaalina abakazi ab'amawanga amalala
(Laba ne Ezer 10:18-44)
18Bano be baalina abakazi ab'amawanga amalala: 19Mu bakabona mwasangibwamu Maaseya ne Eleyazaari ne Yaribu, ne Yodani ab'omu nnyumba ya Yoswa ne baganda be, batabani ba Yehozadaaki. 20Ne bakakasa nti bajja kugoba bakazi baabwe, era ne bawaayo ekitambiro eky'endiga ennume okuddaabiriza olw'ebibi byabwe. 21Mu b'omu nnyumba ya Yimmeri, mwalimu Hanani ne Zebadiya ne Maane, ne Semaaya ne Yehiyeeli ne Azariya. 22Mu b'omu nnyumba ya Pasuhuuri mwalimu Eliwenaayi, Maaseya, Yisimayeli, Natanayeli, Okidelo ne Elasa.
23Mu Baleevi mwalimu Yozabadi, ne Simeeyi ne Kelaya era ayitibwa Kelita, ne Petahiya, Yuda ne Yona. 24Mu bayimbi mwalimu Eliyasibu ne Bakkoro. 25Mu bakuumi b'Essinzizo mwalimu Sallumu ne Telemu.
26Abalala: mu b'omu nnyumba ya Parosi mwalimu Ramiya, Yizziya, Malukiya, Milelo, Eleyazaari, Asebiya ne Benaaya. 27Mu b'omu nnyumba ya Elamu mwalimu Mattaniya, Zekariya, Yezeriyeelo, Abudi, Yeremooti ne Eliya. 28Mu b'omu nnyumba ya Zattu mwalimu Eliwenaayi, Eliyasibu, Otoniya, Yeremooti, Zabadi ne Zerudaaya. 29Mu b'omu nnyumba ya Bebayi: Yehohanani, Ananiya, Zabbayi, ne Emati. 30Mu b'omu nnyumba ya Bani: Mesullamu, Malluki, Adaya, Yasubu, Seyaali, ne Yeremooti. 31Mu b'omu nnyumba ya Addi: Naato, Mossiya, Lakkuno, Nayido, Besikasipasimi, Sesiteeli, Beluno, ne Menesseya. 32Mu b'omu nnyumba ya Annani: Eliyona, Asiya, Melukiya, Sabbiya, ne Simooni Koyemaayo. 33Mu b'omu nnyumba ya Hasumu: Mattenayi, Mattatta, Zabadi, Elifeleti, Manasse ne Simeeyi. 34Mu b'omu nnyumba ya Bani: Yeremaayi, Maadayi, Amuraani, Yoweeli, Mamudaayi Bedeya, Vaniya, Karabasiyoni, Eliyasibu, Makunadebayi, Eliyaasi, Binnuyi, Eliyaali, Simeeyi, Selemiya, ne Nataniya. Mu b'omu nnyumba ya Ezora: Azareeli, Azayeeli, Semaaya, Amariya, ne Yosefu. 35Mu b'omu nnyumba ya Nebo: Mattitiya, Zabadi, Yiddo, Yoweeli, ne Benaaya. 36Abasajja abo bonna baalina abakazi ab'amawanga amalala, ne babagoba n'abaana baabwe.
Ezera asomera abantu Amateeka
(Laba ne Neh 7:73–8:12)
37Awo bakabona n'Abaleevi n'abantu abaabulijjo Abayisirayeli ne basenga mu Yerusaalemu ne mu byalo ebiriraanyeewo. Mu mwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli abalala bonna, baali mu bibuga byabwe. Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwo,#Laba ne 1 Byom 9:2; Neh 11:3 38bonna ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu, mu luggya olwolekera omulyango ogw'ebuvanjuba bw'Essinzizo. 39Ne basaba Ezera Ssaabakabona era omukugu mu Mateeka, Mukama ge yawa Yisirayeli ng'agayisa mu Musa, aleete ekitabo ky'Amateeka. 40Awo Ezera n'aleeta ekitabo ky'Amateeka mu kifo abantu bonna, abasajja n'abakazi, ne bakabona bonna we baali bakuŋŋaanidde okuwulira Amateeka. 41Mu luggya awo okumpi n'omulyango, n'abasomera amateeka, okuva ku makya okutuuka mu ttuntu, nga bonna bawuliriza n'obwegendereza.
42Ezera n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo. 43Ku mukono gwe ogwa ddyo ne wayimirayo Matatiya, Sema, Ananiya, Azariya, Wuriya, Heezeekiya, ne Baalusamo. 44Ate ku mukono gwe ogwa kkono ne wayimirirayo Peyaaya, Misayeli, Malukiya, Lotasubo, Nabariya, ne Zekariya.
45Awo Ezera n'atuula mu kifo kye ku mwaliiro waggulu, bonna we basobola okumulabira. Bwe yakwata ekitabo, 46n'akibikkula, abantu bonna ne bayimirira, Ezera ne yeebaza Mukama, Katonda Atenkanika. 47Abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe, ne baddamu nti: “Amiina, Amiina!” Ne bavuunama ne basinza nga bakutamye ku ttaka.
48Awo Yeswa, Anniyooti, Serebiya, Yamini, Akkubu, Sabbetayi, Hodiya, Mayanna, Kelita, Azariya, Yozabadi, Hanani, ne Peliya, ne bayigiriza abantu Amateeka. Ne bagasomera abantu bonna, nga bwe babannyonnyola ebisomeddwa. 49Awo omufuzi n'agamba Ezera kabona era omukugu mu Mateeka n'Abaleevi bonna abaali bayigiriza abantu nti: 50“Olwaleero lunaku lutukuvu eri Mukama.” Abantu bwe baawulira ebigambo eby'omu Mateeka, ne bakaaba amaziga. 51Omufuzi n'abagamba nti: “Muddeeyo eka mulye ebyassava, era munywe omwenge omuwoomu, muweeko n'abo abatalina. 52Olwaleero lunaku lutukuvu eri Mukama. N'olwekyo temunakuwala. Mukama ajja kuzzaawo ekitiibwa kyammwe eky'edda.”
53Abaleevi ne balagira abantu nti: “Olunaku luno lutukuvu, waleme kubaawo anakuwala.” 54Awo abantu ne baddayo eka ne balya ne banywa nga basanyuka, era ne bagabira ne bannaabwe abatalina. Baajaguza, 55kubanga baategeera ebyabasomerwa. Awo ne bakuŋŋaana…#9:55 Ekitabo eky'Oluyonaani kiri ng'ekyali kikyeyongerayo. Laba ne Nehemiya 8:13.

Currently Selected:

1 ESIDERAASI 9: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in