Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja.