Amas 10
10
1Gano ge mazadde ga batabani ba Nowa, Seemu, Kaamu ne Yafesi: omujjuzi bwe gwaggwa baazaala batabani baabwe.
2 #
1 Ebyaf 1,1-23. Batabani ba Yafesi: Gomeri, Magogi, Madayi, Yavani, Tubali, Meseki ne Tirasi. 3Batabani ba Gomeri: Asukenazi, Rifati ne Togaruma. 4Batabani ba Yavani: Elisa, Tarusisi, Abakittimu n'Abadodani. 5Abantu b'oku nnyanja ne basaasaana mu bizinga okuva mu ndyo zino, buli omu n'olulimi lwe okusinziira ku bika byabwe ne mu mawanga gaabwe.
6Batabani ba Kaamu: Kuusi, Mizurayimu, Puti ne Kanaani. 7Batabani ba Kuusi: Seba, Kavila, Sabuta, Raama ne Sabuteka. Batabani ba Raama: Saba ne Dedani.
8Kuusi yazaala Nimurodi; eyafuuka omuzira owa maanyi mu nsi. 9Yali muyizzi wa maanyi mu maaso g'Omukama. We waava enjogera nti: “Nga Nimurodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso g'Omukama.” 10Ebitebe ebikulu eby'obwakabaka bwe byalinga Babeli, Ereki, Akkadi ne Kalune mu nsi y'e Sinari. 11Mu nsi eyo mwe mwasibuka Assuri n'azimba Nineve ne Rekoboti-Yiri ne Kola, 12ssaako Reseni mu makkati ga Nineve ne Kola; kino kibuga kinene.
13Mizurayimu yazaala Abaludi, Abaanami, Abalewabi, Abanafutuki, 14Abapaturusi, Abakasuluki (omwava Abafilisitiini) n'Abakafutori. 15Kanaani yazaala Sidoni, omuggulanda we, Keti, 16Abayebusi, Abaamori, Abagirugasi, 17Abakivi, Abaaruki, Abasini, 18Abaaruvadi, Abazemari n'Abakamati. Oluvannyuma, ebika by'Abakanaani ne bisaasaana. 19Ensalo z'Abakanaani zaavanga ku Sidoni, Gerari ne zeeyongerayo e Gaza ne zituuka e Sodoma n'e Gomorra ne Aduma ne Zeboyimu okutuuka e Lasa.
20Be bo batabani ba Kaamu, mu ndyo, mu nnimi, mu nsi ne mu mawanga gaabwe.
21Seemu, muganda wa Yafesi omukulu, naye n'azaala omulenzi nga ye jjajja w'abazzukulu ba Eberi bonna.
22Batabani ba Seemu: Elamu, Assuri, Arupakusadi, Ludi ne Aramu. 23Batabani ba Aramu: Wuzi, Kuli, Geteri ne Masi.
24Arupakusadi yazaala Sela, Sela n'azaala Eberi. 25Eberi yazaalirwa abaana ab'obulenzi babiri: omu ng'ayitibwa Pelegi kubanga mu budde bwe ensi we yagabanyizibwamu ebitundu; ne muganda we erinnya lye Yokutani. 26Yokutani yazaala Alumodadi, Selefu, Kazarumaveti, Yera, 27Adoramu, Wuzari, Dikula, 28Obali, Abimayeli, Saba, 29Ofiri, Kavila ne Yobabu. Bonna abo baana ba Yokutani. 30Baabeeranga mu kitundu okuva e Mesa, okutuuka e Sefari mu nsi ey'ensozi ey'ebuvanjuba.
31Bano be batabani ba Seemu ng'ogoberedde endyo zaabwe, n'ennimi zaabwe mu nsi zaabwe ne mu mawanga gaabwe.
32Gano ge mazadde g'abazzukulu ba Nowa mu mazadde gaabwe n'amawanga gaabwe. Mu bo mwe mwasibuka amawanga amalala ku nsi ng'omujjuzi guwedde.
Omunaala gw'e Babeli
S'ha seleccionat:
Amas 10: BIBU1
Subratllat
Comparteix
Copia
Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.