Olubereberye 9

9
Katonda akola Endagaano ne Nuuwa
1Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti, “Mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi.#Lub 8:17 2Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Binaabanga mu buyinza bwammwe.#Lub 1:26 3Nga bwe n'abawa ebimera okuba emmere, era mbawadde na buli kiramu ekitambula okuba emmere gye muli; buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli.#Lub 1:29, Ma 12:15, 1 Tim 4:3,4 4Naye ennyama ekyalimu omusaayi temugiryanga kubanga obulamu buli mu musaayi, temugiryanga.#Leev 3:17; 7:26; 17:10,11, Ma 12:16,23, 1 Sam 14:34, Bik 15:20,29 5Siiremenga kuzikiriza muntu oba ensolo esaanyawo obulamu bw'omuntu.#Kuv 21:28, Kubal 35:30,31 6Buli anattanga omuntu naye anattibwanga, kubanga omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.#Lub 1:27, Kuv 21:12,14, Leev 24:17, Kubal 35:33, Mat 26:52, Kub 13:10 7Naye mmwe muzaale nnyo, mweyongerenga, mujjuze ensi.”
8Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be nti, 9“Kaakano nkola endagaano nammwe era n'ezadde lyammwe erinaddangawo;#Lub 6:18, Kaab 2:15 10era na buli kiramu ekiri awamu nammwe: ennyonyi ez'omubbanga, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, ne byonna ebivudde mu lyato. 11Nange nkola nammwe endagaano; sikyaddayo kuzikiriza biramu byonna na mataba; amataba tegakyaddamu kuzikiriza nsi nate mulundi gwa kubiri.”#Is 54:9 12Katonda era n'agamba nti, “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe: 13ntadde musoke ku bire, abeerenga akabonero ak'endagaano gye nkoze n'ensi.#Ez 1:28, Kub 4:3 14Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ebire ku ggulu, musoke n'alabika, 15najjukiranga endagaano gye nkoze nammwe na buli kiramu kyonna ekirina omubiri; amataba tegaliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi.#Leev 26:42,45, 1 Bassek 8:23, Is 54:9 16Musoke bw'anaalabikanga ku bire, nnaamutunuuliranga ne nzijukira endagaano ey'emirembe n'emirembe, nze Katonda gye nkoze n'ebitonde byonna ebiramu ebiri ku nsi.”#Lub 17:7,19, 2 Sam 23:5 17Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.”
Nuuwa n'Abaana be
18Abaana ba Nuuwa abaava mu lyato be bano: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Kaamu ye yazaala Kanani.#Lub 6:10 19Abo bonsatule Nuuwa be yazaala; n'abaana baabwe be baazaala, be baabuna ensi.#Lub 10:1-32
20Nuuwa n'atandika okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu; 21n'anywa ku mwenge gwalwo ng'ali mu weema ye, bwe yatamiira n'agalamira ng'ali bukunya. 22Kaamu, kitaawe wa Kanani, bwe yalaba ensonyi za kitaawe, n'agenda n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula eky'ennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe ne gatalaba ku nsonyi za kitaabwe. 24Nuuwa omwenge bwe gwamwamukako, n'amanya omwana we omuto kye yamukola,#Kaab 2:15 25N'ayogera nti,
“Kanani akolimirwe;
Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be.”#Ma 27:16, Yos 9:23, Balam 1:28, 1 Bassek 9:20,21
26Era yayogera nti,
“Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu;
Era Kanani abeerenga muddu we.
27Katonda agaziye Yafeesi,
Era atuulenga mu weema za Seemu;
Era Kanani abeerenga muddu we.”
28Nuuwa n'awangaala emyaka bisatu mu ataano (350), amataba nga gamaze okubaawo. 29Nuuwa n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano (950).

S'ha seleccionat:

Olubereberye 9: LBR

Subratllat

Comparteix

Copia

None

Vols que els teus subratllats es desin a tots els teus dispositius? Registra't o inicia sessió