1
Olubereberye 3:6
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso, n'omuti nga gwa kwegombebwa okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne bba naye n'alya.
Compara
Explorar Olubereberye 3:6
2
Olubereberye 3:1
N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, Mukama Katonda ze yakola. Ne gugamba omukazi nti, “Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti, ‘Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?’”
Explorar Olubereberye 3:1
3
Olubereberye 3:15
nange n'ateeka obulabe wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi; alikubetenta omutwe gwo, naawe olibetenta ekisinziiro kye.”
Explorar Olubereberye 3:15
4
Olubereberye 3:16
N'agamba omukazi nti, “Nnaayongeranga nnyo obulumi bwo mu kuzaala abaana; mu bulumi mwonoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri balo, naye anaakufuganga.”
Explorar Olubereberye 3:16
5
Olubereberye 3:19
Mu ntuuyo ez'omu maaso go mwonooliiranga emmere, okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggyibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.”
Explorar Olubereberye 3:19
6
Olubereberye 3:17
N'agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, ‘Togulyangako,’ ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga eby'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo
Explorar Olubereberye 3:17
7
Olubereberye 3:11
N'amubuuza nti, “Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?”
Explorar Olubereberye 3:11
8
Olubereberye 3:24
Bw'atyo n'agoba omuntu; n'ateeka bakerubi ebuvanjuba w'olusuku Edeni, era n'ekitala ekimyansa, ekikyukakyuka, okukuumanga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.
Explorar Olubereberye 3:24
9
Olubereberye 3:20
Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
Explorar Olubereberye 3:20
Inici
La Bíblia
Plans
Vídeos