1
Olubereberye 13:15
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna.
Compara
Explorar Olubereberye 13:15
2
Olubereberye 13:14
Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti, “Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiikakkono n'obwaddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba
Explorar Olubereberye 13:14
3
Olubereberye 13:16
Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi; era oba nga waliwo ayinza okubala enfuufu eri ku nsi, oyo mpozzi y'aliyinza okubabala.
Explorar Olubereberye 13:16
4
Olubereberye 13:8
Ibulaamu n'agamba Lutti nti, “Nkwegayiridde waleme okubaawo okukaayana wakati wange naawe ne wakati w'abasumba bange n'ababo; kubanga tuli ba luganda.
Explorar Olubereberye 13:8
5
Olubereberye 13:18
Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule egiri mu Kebbulooni, n'azimbira Mukama eyo ekyoto.
Explorar Olubereberye 13:18
6
Olubereberye 13:10
Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, okutuukira ddala e Zowaali, nga lulimu amazzi mangi, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, oba ng'ensi y'e Misiri. Mu kiseera ekyo, Mukama yali tannazikiriza Sodoma ne Gomora.
Explorar Olubereberye 13:10
Inici
La Bíblia
Plans
Vídeos