MARIKO 7:21-23
MARIKO 7:21-23 LB03
kubanga mu mutima gw'omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, obwenzi, okululunkanira ebintu, ebikolwa ebibi ebya buli ngeri, obukumpanya, obuluvu, obuggya, okwogera obubi ku balala, okwekulumbaza, n'obugwagwa. Ebintu bino byonna ebibi biva mu mutima, ne byonoona empisa z'omuntu.”