OKUVA E MISIRI 8:18-19
OKUVA E MISIRI 8:18-19 LB03
Abasawo nabo ne bakozesa amagezi gaabwe ag'ekyama okuleeta obutugu, naye ne balemwa. Obutugu ne bubuna buli wantu ku bantu ne ku nsolo. Abasawo ne bagamba kabaka nti: “Katonda ye akoze kino.” Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, era n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.