OKUVA E MISIRI 2:11-12
OKUVA E MISIRI 2:11-12 LB03
Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda okukyalira baganda be Abeebureeyi, n'alaba nga bwe batuntuzibwa. N'alaba n'Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lya Musa. Musa n'amagamaga eruuyi n'eruuyi, n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka atta Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.