OKUVA E MISIRI 15:23-25
OKUVA E MISIRI 15:23-25 LB03
Bwe baatuuka e Mara, ne batayinza kunywa mazzi gaayo, kubanga gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Mara. Abantu ne beemulugunyiza Musa nga bagamba nti: “Tunaanywa ki?” Musa ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amulaga omuti, Musa n'agusuula mu mazzi ne gafuuka amalungi. Eyo Mukama gye yabaweera amateeka ge banaagobereranga, era eyo gye yabagereza.