YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 14

14
Okufa kwa Yowanne Omubatiza
(Laba ne Mak 6:14-29; Luk 9:7-9)
1Mu kiseera ekyo, Herode omufuzi n'awulira ettutumu lya Yesu. 2N'agamba basajja be nti: “Ono ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”
3Herode yali akutte Yowanne n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, ng'agenderedde okusanyusa Herodiya, muka Filipo, muganda wa Herode.#Laba ne Luk 3:19-20 4Kubanga Yowanne yagambanga Herode nti: “Tokkirizibwa kumusigula n'omufuula owuwo.”#Laba ne Leev 18:16; 20:21 5Herode n'ayagala okutta Yowanne, kyokka n'atya abantu, kubanga baali bamanyi nti Yowanne mulanzi.
6Ku lunaku lw'amazaalibwa ga Herode, muwala wa Herodiya n'azina mu maaso ga bonna. Herode n'asanyuka 7N'alayira n'okulayira, n'amusuubiza okumuwa kyonna kyonna ky'anaamusaba.
8Omuwala n'akolera ku magezi nnyina ge yamuwa, n'agamba nti: “Mpa omutwe gwa Yowanne Omubatiza nga guteekeddwa wano ku ssowaani.”
9Kabaka n'anakuwala nnyo, kyokka olw'okubanga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'alagira gumuweebwe. 10N'atuma mu kkomera ne batemako Yowanne omutwe. 11Ne baguleetera ku ssowaani, ne baguwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina. 12Abayigirizwa ba Yowanne ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne baguziika. Ne bagenda ne babuulira Yesu.
Yesu akkusa abantu enkumi ttaano
(Laba ne Mak 6:30-44; Luk 9:10-17; Yow 6:1-14)
13Awo Yesu bwe yawulira ebyo, n'ava mu kifo ekyo, n'asaabala mu lyato, n'alaga mu kifo eky'eddungu, asobole okuba yekka. Abantu bangi bwe baamanya, ne bava mu bibuga ne bamugoberera, nga bayita ku lukalu. 14Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe.
15Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buwungedde. Abantu basiibule, bagende beegulire emmere mu bubuga.”
16Yesu n'abagamba nti: “Tewali kibeetaagisa kugenda, mmwe muba mubawa emmere balye.” 17Ne bamugamba nti: “Tetulina kantu wano, okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
18Yesu n'agamba nti: “Mubindeetere wano.” 19N'alagira abantu okutuula ku muddo, n'atoola emigaati etaano, n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu. 20Bonna ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwalemerawo, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri. 21Abo abaalya, baali abasajja ng'enkumi ttaano, awatali kubala bakazi na baana.
Yesu atambula ku mazzi
(Laba ne Mak 6:45-52; Yow 6:15-21)
22Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulembere, bagende emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu. 23Bwe yamala okusiibula abantu, n'ayambuka ku lusozi yekka okusinza Katonda. Obudde ne buwungeera nga Yesu ali eyo yekka. 24Abayigirizwa baali mu lyato ku nnyanja, eryato nga lisundibwa amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso.
25Obudde bwali bunaatera okukya, Yesu n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. 26Bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti: “Omuzimu!” Ne baleekaana olw'okutya.
27Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti: “Mugume omwoyo, ye Nze, temutya!”
28Awo Peetero n'amuddamu nti: “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambula ku mazzi.”
29Yesu n'agamba nti: “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi okugenda eri Yesu. 30Kyokka bwe yalaba omuyaga, n'atya. N'atandika okukka mu mazzi, n'aleekaana nti: “Mukama wange, mponya!”
31Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono! Lwaki obuusizzabuusizza?” 32Bombi bwe baasaabala mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. 33Abaali mu lyato ne basinza Yesu nga bwe bagamba nti: “Ddala, oli Mwana wa Katonda!”
Yesu awonya abalwadde e Gennesareeti
(Laba ne Mak 6:53-56)
34Bwe baava ku nnyanja, ne batuuka mu kitundu eky'e Gennesareeti. 35Abantu baayo Yesu bwe baamutegeera, ne batuma mu kitundu ekyo kyonna, ne bamuleetera abalwadde bonna, 36ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakwatako, ne bawona.

Currently Selected:

MATAYO 14: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in