YOWANNE 13:14-15
YOWANNE 13:14-15 LBWD03
Kale oba nga nze Mukama wammwe, era Omuyigiriza wammwe mbanaazizza ebigere, nammwe kibagwanidde buli omu okunaazanga munne ebigere, kubanga mbawadde ekyokulabirako. Nga bwe nkoze ku mmwe, nammwe bwe mubanga mukola.