YOWANNE 12
12
Yesu afukibwako omuzigo ogw'akawoowo e Betaniya
(Laba ne Mat 26:6-13; Mak 14:3-9)
1Bwe waali nga wakyabulayo ennaku mukaaga, Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako etuuke, Yesu n'ajja e Betaniya, awaali Laazaro, gwe yazuukiza. 2Ne bamufumbirayo ekyeggulo, Marita n'aweereza. Laazaro yali omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
3Awo Mariya n'addira eccupa#12:3 eccupa: Wano, mu Luyonaani omuwandiisi akozesa linnya lya kipimo “Litra” ekyalimu gulaamu 327.45. Matayo ne Mariko be boogera obutereevu ku ccupa. erimu omuzigo omulungi oguyitibwa narudo, oguwunya akawoowo, era ogw'omuwendo ennyo, n'agusiiga ku bigere bya Yesu, n'abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba n'ejjula akawoowo ak'omuzigo ogwo.#Laba ne Luk 7:37-38
4Naye Yuda Yisikaryoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti: 5“Lwaki omuzigo guno tegutundiddwa denaari ebikumi bisatu#12:5 Denaari ebikumi bisatu: Gwe musaala gw'omukozi gwa myezi kkumi, kubanga denaari emu yali yenkana omusaala gw'omukozi ogumusasulwa buli lunaku lw'akola., ne zigabirwa abaavu?” 6Yayogera ekyo, si lwa kulumirwa baavu, wabula kubanga yali mubbi. Ye yakwatanga ensawo, era bye baateekangamu, ng'abitwala.
7Yesu n'agamba nti: “Omukazi mumuleke, omuzigo aguterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. 8Abaavu ba kuba nammwe bulijjo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo.”#Laba ne Ma 15:11
Olukwe olw'okutta Laazaro
9Awo ekibiina kinene eky'Abayudaaya, ne kitegeera nti Yesu ali Betaniya. Ne kijja, si lwa Yesu yekka, naye n'okulaba Laazaro, Yesu gwe yazuukiza. 10Bakabona abakulu ne basala amagezi okutta ne Laazaro, 11kubanga ku lulwe, Abayudaaya bangi baabavangako, ne bakkiriza Yesu.
Yesu ayingira n'ekitiibwa mu Yerusaalemu
(Laba ne Mat 21:1-11; Mak 11:1-11; Luk 19:28-40)
12Ku lunaku olwaddirira, abantu abangi abaali bazze ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemu, 13ne bakwata amatabi g'enkindu, ne bagenda okumusisinkana, ne baleekaana nti:
“Mukama atenderezebwe!
Ajja mu linnya lya Mukama,
aweereddwa omukisa.
Ye Kabaka wa Yisirayeli.”#Laba ne Zab 118:25-26
14Awo Yesu n'asanga endogoyi, n'agyebagalako, nga bwe kyawandiikibwa nti: 15“Mmwe abantu b'e Siyooni, temutya. Laba, Kabaka wammwe ajja, nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.”#Laba ne Zek 9:9
16Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira, ng'ebyo byawandiikibwa nga bifa ku ye, era nga baabimukolera.
17Ekibiina ky'abantu ekyaliwo nga Yesu ayita Laazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza, kyanyumya ebibaddewo. 18Abantu bangi kyebaava bajja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola ekyewuunyo ekyo. 19Awo Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe bwe tulemeddwa! Ensi yonna emusenze!”
Abayonaani abamu baagala okulaba Yesu
20Mu abo abaayambuka e Yerusaalemu, mu budde obw'Embaga okusinza Katonda, mwalimu Abayonaani abamu. 21Bano ne bajja eri Filipo, eyava e Betusayida eky'omu Galilaaya, ne bamusaba nti: “Ssebo, twagala okulaba Yesu.” 22Filipo n'agenda n'abuulira Andereya, bombi ne bategeeza Yesu. 23Yesu n'abaddamu nti: “Ekiseera kituuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe. 24Mazima ddala mbagamba nti empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka. Naye bw'efa, ebala ebibala bingi. 25Buli ayagala obulamu bwe, alibufiirwa. Naye akyawa obulamu bwe mu nsi muno, alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.#Laba ne Mat 10:39; 16:25; Mak 8:35; Luk 9:24; 17:33 26Oyo ampeereza, angoberere. Nze we ndi, n'omuweereza wange w'anaabeeranga. Kitange aliwa ekitiibwa oyo ampeereza.
Yesu ayogera ku kufa kwe
27“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde, era njogere ki? Ŋŋambe nti: ‘Kitange, mponya akaseera kano?’ Naye ate ekyandeeta, kwe kuyita mu kaseera kano ak'okubonaabona! 28Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti: “Naligulumiza, era ndirigulumiza nate.”
29Ekibiina ky'abantu, ekyali kiyimiridde awo bwe kyawulira, ne kigamba nti: “Laddu ye bwatuse!” Abalala ne bagamba nti: “Malayika ayogedde naye.”
30Yesu n'abagamba nti: “Eddoboozi lino terizze ku lwange, wabula ku lwammwe. 31Kaakano ensi ejja kusalirwa omusango, kaakano omufuzi w'ensi eno, ajja kugoberwa ebweru. 32Ate nze bwe ndisitulibwa ku nsi, ndisika bonna ne mbazza gye ndi.” 33Ekyo yakyogera, ng'ategeeza enfa gy'alifaamu.
34Awo ekibiina ky'abantu ne kimuddamu nti: “Ffe mu Mateeka twawulira nti Kristo wa kubeerawo emirembe n'emirembe. Ate ggwe lwaki ogamba nti Omwana w'Omuntu ateekwa okusitulibwa? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”#Laba ne Zab 110:4; Yis 9:7; Ezek 37:25; Dan 7:14
35Yesu n'abagamba nti: “Ekitangaala kinaabeera nammwe okumala ekiseera kitono. Mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwatira mu kkubo, kubanga atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. 36Mukkirize ekitangaala nga mukyakirina, mulyoke mube abaana b'ekitangaala.”
Obutakkiriza bw'Abayudaaya
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka. 37Newaakubadde yakola ebyewuunyo ebyenkanidde awo mu maaso gaabwe, era tebaamukkiriza. 38Ekigambo kya Yisaaya omulanzi ne kituukirira, ekigamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye tugamba? Era Mukama yalaga ani obuyinza bwe?”#Laba ne Yis 53:1
39Kyebaava balema okukkiriza, kubanga Yisaaya yagamba era nti: 40“Katonda yabaziba amaaso, n'abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, n'emitima gyabwe gireme okutegeera, era baleme kukyuka mbawonye.”#Laba ne Yis 6:10
41Ebyo Yisaaya yabyogera, kubanga yalaba ekitiibwa kya Yesu, n'amwogerako.
42Sso era bangi mu bakungu Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw'okutya Abafarisaayo, tebaakyatula, baleme okugobwa mu kkuŋŋaaniro. 43Baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu, okusinga ekitiibwa ekibaweebwa Katonda.
Okulamulirwa ku bigambo bya Yesu
44Awo Yesu n'ayogera mu ddoboozi ery'omwanguka, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza Nze, wabula akkiriza oli eyantuma. 45Era alaba nze, ng'alabye oli eyantuma. 46Nze najja mu nsi nga ndi kitangaala, buli anzikiriza, aleme kubeera mu kizikiza. 47Awulira ebigambo byange n'atabikolerako, Nze simusalira musango, kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okugirokola. 48Agaana Nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango. Ebigambo bye nayogera bye birimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero, 49kubanga Nze saayogeranga ku bwange, wabula Kitange eyantuma, ye yandagira bye nteekwa okugamba, n'okwogera. 50Era mmanyi ng'ekiragiro kye, bwe bulamu obutaggwaawo. Kale Nze bye njogera, mbyogera nga Kitange bwe yabiŋŋamba.”
Currently Selected:
YOWANNE 12: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.