YOWANNE 10
10
Olugero lw'omusumba omulungi
1Yesu n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2Oyo ayita mu mulyango ye musumba w'endiga. 3Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ziwulira eddoboozi lye. Endiga ze aziyita amannya, n'azifulumya ebweru. 4Bw'amala okuzifulumya, azikulembera, ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5Omulala tezimugoberera, wabula zidduka mudduke, kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
6Yesu yabagerera olugero olwo, naye bo ne batategeera ky'agambye.
Yesu omusumba omulungi
7Awo Yesu n'abagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti nze mulyango gw'endiga. 8Abalala bonna abansooka okujja babbi era banyazi, naye endiga tezaabawuliriza. 9Nze mulyango. Buli ayingirira mu Nze aliba bulungi. Aliyingira, n'afuluma, n'aliisibwa mu ddundiro. 10Omubbi ajjirira kubba, na kutta, na kuzikiriza. Nze najja, abantu balyoke babe n'obulamu, era babe nabwo nga bujjuvu.
11“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga. 12Oyo alundira empeera, atali musumba era atali nnannyini ndiga, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka n'adduka, omusege ne guzirumba, ne guzisaasaanya. 13Adduka, kubanga alundira mpeera. Endiga tazifaako.
14“Nze musumba omulungi. Ntegeera endiga zange, era n'endiga zange zintegeera. 15Nga Kitange bw'antegeera, era nange bwe ntyo bwe ntegeera Kitange, era mpaayo obulamu bwange okukuuma endiga zange.#Laba ne Mat 11:27; Luk 10:22 16Nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino. Nteekwa nazo okuzireeta. Ziriwulira eddoboozi lyange, era waliba ekisibo kimu n'omusumba omu.
17“Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18Tewali abunzigyako, nze mbuwaayo nzennyini. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddiza. Ekyo Kitange kye yandagira okukola.”
19Empaka ne zisituka nate mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo. 20Bangi ku bo ne bagamba nti: “Aliko omwoyo omubi, era alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo bino si bya muntu aliko mwoyo mubi. Omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga muzibe?”
Yesu yeegaanibwa Abayudaaya
22Mu Yerusaalemu, yali mbaga ey'Okutukuza Essinzizo, era bwali budde bwa butiti. 23Yesu yali atambulatambula mu kisasi kya Solomooni mu Ssinzizo. 24Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti: “Olituusa ddi okutuleka mu kubuusabuusa? Tubuulire oba nga ggwe Kristo.”
25Yesu n'abaddamu nti: “Nababuulira dda, naye temukkiriza. Ebyo bye nkola mu buyinza bwa Kitange, bye binjogerera. 26Naye mmwe temukkiriza, kubanga temuli ndiga zange. 27Endiga zange ziwuliriza eddoboozi lyange. Nze nzitegeera, era zingoberera. 28Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezirizikirira emirembe n'emirembe. Tewali n'omu ayinza kuzinnyagako. 29Kitange eyazimpa, ye asinga bonna obuyinza, era tewali ayinza kuzimunyagako. 30Nze ne Kitange tuli omu.”
31Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okukuba Yesu. 32Ye n'abagamba nti: “Mwalaba ebirungi bingi Kitange bye yansobozesa okukola. Kiruwa ku byo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetukukuba mayinja lwa birungi by'okola, naye lwa kuvvoola Katonda, era kubanga ggwe omuntu obuntu, weefuula Katonda.”#Laba ne Leev 24:16
34Yesu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Katonda yagamba nti: ‘Muli balubaale?’#10:34 Muli balubaale…Mwana wa Katonda: Laba Zabbuli 82:6, awagamba nti: “Muli balubaale mmwe, mwenna muli baana ba Atenkanika.”#Laba ne Zab 82:6 35Katonda, abo abaaweebwa ekigambo kye, yabayita balubaale, ate ng'ebyawandiikibwa bisigala nga bya mazima bulijjo. 36Nze, Kitange yantukuza, n'antuma mu nsi. Kale lwaki mugamba nti nzivoola Katonda, kubanga ŋŋambye nti ndi Mwana wa Katonda? 37Oba nga sikola ebyo Kitange by'ayagala nkole, temunzikiriza. 38Naye oba nga mbikola, newaakubadde Nze temunzikiriza, waakiri mukkirize ebyo bye nkola, mulyoke mumanye era mutegeere nga Kitange ali mu Nze, nga nange ndi mu Kitange.”
39Ne bagezaako nate okumukwata, kyokka n'abasumattuka. 40N'agenda nate emitala w'Omugga Yorudaani, mu kifo Yowanne gye yali olubereberye ng'abatiza. N'abeera eyo.#Laba ne Yow 1:28 41Abantu bangi ne bajja gy'ali, ne bagamba nti: “Yowanne teyakola byewuunyo, kyokka byonna Yowanne bye yayogera ku ono bya mazima.” 42Bangi abaali eyo ne bamukkiriza
Currently Selected:
YOWANNE 10: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.