ENTANDIKWA 30
30
1Raakeeli bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, n'akwatirwa muganda we obuggya, n'agamba Yakobo nti: “Mpa abaana, oba si ekyo nja kufa.” 2Yakobo n'asunguwalira Raakeeli n'agamba nti: “Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma okuzaala abaana?” 3Raakeeli n'agamba nti: “Omuzaana wange Biliha wuuno, weebake naye, alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye.” 4N'amuwa Biliha omuzaana we, abe mukazi we. Yakobo ne yeegatta ne Biliha, 5Biliha n'aba olubuto n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 6Raakeeli n'agamba nti: “Katonda asaze omusango ku lwange, era awulidde eddoboozi lyange, n'ampa omwana ow'obulenzi.” Kyeyava amutuuma erinnya Daani.#30:6 Daani: Mu Lwebureeyi kwe kugamba nti “asaze omusango.” 7Biliha omuzaana wa Raakeeli, n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri. 8Raakeeli n'agamba nti: “Mmegganye ne muganda wange ebigwo eby'amaanyi era mpangudde.” N'amutuuma erinnya Nafutaali.#30:8 Nafutaali: Mu Lwebureeyi liva mu “Nifhtal” ekitegeeza “Okumeggana.” 9Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zilupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo abe mukazi we. 10Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 11Leeya n'agamba nti: “Mbadde wa mukisa!” N'amutuuma erinnya Gaadi.#30:11 Gaadi: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Mukisa.” 12Zilupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookubiri. 13Leeya n'agamba nti: “Nsanyuse, kubanga abakazi banampitanga musanyufu.” N'amutuuma Aseri.#30:13 Aseri: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Musanyufu.”
14Mu biseera eby'amakungula g'eŋŋaano, Rewubeeni n'alaga mu nnimiro, n'azuulayo ebimera ebiyitibwa mandurake,#30:14 mandurake: Bye bimera ebirowoozebwa okuleeta oluzaalo n'obuganzi. n'abireetera Leeya, nnyina. Awo Raakeeli n'agamba Leeya nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mandurake g'omwana wo.”
15Leeya n'amuddamu nti: “Okunzigyako baze tekimala? Kaakano oyagala n'okunzigyako amandurake g'omwana wange?” Raakeeli n'amugamba nti: “Bw'ompa amandurake g'omwana wo, Yakobo aneebaka naawe ekiro kino.” 16Yakobo bwe yava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'agamba nti: “Ojja kwebaka nange ekiro kino, kubanga mpaddeyo amandurake g'omwana wange okukugula.” Ne yeebaka naye ekiro ekyo. 17Katonda n'awulira okusaba kwa Leeya. Leeya n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi owookutaano. 18Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange.” N'amutuuma Yissakaari.#30:18 Yissakaari: Mu Lwebureeyi liva mu “Sakar,” ekitegeeza “Okupangisa olw'empeera.” 19Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. 20Leeya n'agamba nti: “Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi. Kaakano baze ananzisaamu ekitiibwa, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga.” N'amutuuma erinnya Zebbulooni.#30:20 Zebbulooni: Mu Lwebureeyi liva mu “Zabal” ekitegeeza “Okussaamu ekitiibwa.” 21Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma erinnya Dina. 22Katonda n'ajjukira Raakeeli. Katonda n'awulira okusaba kwa Raakeeli n'amuwa okuzaala. 23Raakeeli n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi, era n'agamba nti: “Katonda anzigyeeko okuvumibwa.” 24N'amutuuma erinnya Yosefu#30:24 Yosefu: Mu Lwebureeyi liva mu bigambo ebiva mu “Sp,” ekitegeeza “Okuggyawo,” ne mu “Ysp,” ekitegeeza “Okweyongera.” ng'agamba nti: “Mukama annyongere omwana omulala ow'obulenzi.”
Yakobo ateeseganya ne Labani
25Awo Raakeeli bwe yamala okuzaala Yosefu, Yakobo n'agamba Labani nti: “Nsiibula nzireyo ewaffe, era mu nsi y'ewaffe. 26Mpa bakazi bange n'abaana bange, be nakuweererezanga, ndyoke ŋŋende, kubanga omanyi bwe nkuweerezza obulungi.”
27Labani n'amugamba nti: “Singa onzikiriza okwogera kino: ndaguddwa ne nzuula nti Mukama yampa omukisa olw'okubeera ggwe. 28Nsalira empeera yo, ngikuwe.”
29Yakobo n'agamba nti: “Ggwe wennyini omanyi bwe nakuweerezanga, era n'amagana go bwe gaali, nga nze ngalabirira. 30Walina matono nga sinnajja, naye kaakano geeyongedde obungi, era Mukama yakuwa omukisa buli gye nagendanga yonna. Naye kaakano ndifuna ddi nange eby'amaka gange?” 31Labani n'abuuza nti: “Nnaakuwa ki?” Yakobo n'addamu nti: “Toliiko ky'onompa. Nja kwongera okulabirira amagana go, singa ononkolera kino: 32Ka mpite mu magana go gonna olwaleero, nga ŋŋenda nzigyamu buli ndiga na buli mbuzi eya bitanga n'ey'amabalabala, na buli ndiga nto enzirugavu. Ezo ze zinaaba empeera yange. 33Oluvannyuma olimanya oba nga mbadde wa mazima. Bw'olijja okukebera empeera yange, buli mbuzi eteri ya bitanga oba ya mabala, n'endiga eteri nzirugavu bw'erisangibwa nange, eyo eribalibwa nga nzibe.”
34Labani n'agamba nti: “Kale nzikirizza ky'ogambye.”
35Naye ku lunaku olwo, Labani n'aggyamu embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga, n'embuzi enkazi zonna ez'amabalabala n'eza bitanga, n'ezo zonna ezaalina ebbala eryeru, era n'endiga zonna enzirugavu, n'azikwasa batabani be okuzirabirira. 36N'agenda nazo, ne yeesuula Yakobo ebbanga lya lugendo lwa nnaku ssatu. Yakobo n'alabirira amagana ga Labani agaasigalawo. 37Yakobo n'addira obuti obw'omupopulaari omubisi n'obw'omulumondi n'obw'omupulaane n'abususumbulako ebikuta ebimu, ne bubaamu ennyiriri enjeru. 38Obuti obwo bw'asusumbudde, n'abusimba mu maaso g'amagana mu byesero, amagana we gajja okunywa, kubanga ensolo zaawakanga nga zizze okunywa. 39Awo bwe zaawakanga nga zitunuulidde obuti obwo, nga zizaala eza biwuuga n'ez'amabalabala n'eza bitanga. 40Yakobo n'ayawula endiga n'embuzi, era ensolo ezo n'azitereeza ne zitunuulira eza biwuuga oba enzirugavu ez'omu ggana lya Labani. Bw'atyo n'ayawula eggana erirye, n'ataligatta na lya Labani. 41Awo ez'amaanyi bwe zaabanga ziwaka, Yakobo n'ateeka obuti mu byesero mu maaso g'eggana, ziwakire we buli. 42Naye bwe zaabanga ennafu, teyabuteekangawo. N'olwekyo ensolo enafu ze zaabanga eza Labani, ez'amaanyi nga ze ziba eza Yakobo. 43Bw'atyo omusajja Yakobo n'afuuka mugagga nnyo, n'aba n'amagana mangi, n'abazaana, n'abaddu, n'eŋŋamiya, n'endogoyi.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 30: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.