ENTANDIKWA 28
28
Yisaaka asindika Yakobo ewa Labani
1Awo Yisaaka n'ayita Yakobo n'amuwa omukisa, n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Muhiiti. 2Situka ogende e Paddanaraamu, mu maka ga jjajjaawo Betweli azaala nnyoko, weewasize omukazi ku bawala ba kojjaawo Labani. 3Katonda Omuyinzawaabyonna akuwe omukisa, ozaale abaana bangi, ofuuke kitaawe w'amawanga amangi. 4Era akuwe ggwe n'ezzadde lyo omukisa gwe yawa Aburahamu, osikire ensi eno gy'obaddemu, Katonda gye yawa Aburahamu.”#Laba ne Nta 17:4-8 5Yisaaka n'asindika Yakobo e Paddanaraamu ewa Labani mutabani wa Betweli Omwarameeya era mwannyina Rebbeeka, nnyina Esawu ne Yakobo.
Esawu awasa omukazi omulala
6Awo Esawu n'amanya nga Yisaaka yawa Yakobo omukisa, era nga yamusindika e Paddanaraamu okwewasizaayo omukazi. Era n'amanya nti bwe yamuwa omukisa, yamukuutira obutawasanga mukazi Mukanaani, 7era nti Yakobo yawulira kitaawe ne nnyina n'agenda e Paddanaraamu. 8Esawu bwe yategeera nga kitaawe tasiima bakazi Bakanaani, 9n'agenda ewa Yisimayeli, omwana wa Aburahamu, n'awasa muwala we Mahalati, mwannyina Nebayooti, n'amwongera ku bakazi be abalala.
Yakobo alootera e Beteli
10Yakobo n'ava mu Beruseba, n'ayolekera ekibuga Harani. 11N'atuuka mu kifo ekimu, n'asula awo, kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alizizikako omutwe gwe, n'agalamira okwebaka.
12N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go,#Laba ne Yow 1:51 13era Mukama ng'ayimiridde, waggulu waago, ng'agamba nti: “Nze Mukama Katonda wa Aburahamu jjajjaawo, era Katonda wa Yisaaka. Ensi gy'ogalamiddeko ndigikuwa ggwe ne bazzukulu bo.#Laba ne Nta 13:14-15 14Bazzukulu bo baliba bangi ng'enfuufu ey'oku nsi. Balibuna ebugwanjuba n'ebuvanjuba, n'ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, era mu ggwe, ne mu bazzukulu bo, ebika byonna eby'oku nsi, mwe biriweerwa omukisa.#28:14 ebika…omukisa: Oba “Birinsaba okubiwa omukisa nga gwe mpadde ggwe ne bazzukulu bo.”#Laba ne Nta 12:3; 22:18 15Laba, ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga yonna gy'onoogendanga, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okutuukiriza ebyo bye nkugambye.”
16Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'agamba nti: “Mazima Mukama ali mu kifo kino! Nze mbadde simanyi!” 17N'atya n'agamba nti: “Ekifo kino nga kya ntiisa! Ekifo kino ddala ye nnyumba ya Katonda, era gwe mulyango gw'eggulu!”
18Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'akwata ejjinja lye yazizikako omutwe gwe, n'alisimba libe ekijjukizo, n'alifukako omuzigo. 19N'atuuma ekifo ekyo erinnya Beteli.#28:19 Beteli: Mu Lwebureeyi, kitegeeza “Ennyumba ya Katonda.” Naye erinnya ly'ekibuga lyali Luuzi mu kusooka.
20Awo Yakobo ne yeeyama obweyamo buno eri Mukama nti: “Bw'onoobanga awamu nange, n'onkuumanga mu lugendo lwange luno, era bw'onompanga ebyokulya n'ebyokwambala, 21era bw'olinkomyawo emirembe mu nnyumba ya kitange, olwo onoobanga Katonda wange. 22Ejjinja lino lye nsimbye okuba ekijjukizo, liriba nnyumba yo, ayi Katonda, era ndikuwa ekitundu ekimu eky'ekkumi ku bintu byonna by'olimpa.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 28: LBwD03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.