YouVersion Logo
Search Icon

Mar 16

16
1 # Mat 28,1-8; Luk 24,1-12; Yow 20,1-13. Sabbaato ng'emaze okuyita, Mariya ow'e Magudala ne Mariya owa Yakobo ne Salome ne bagula ebyakaloosa bagende bamuzirage. 2Mu matulutulu, ku lusooka mu wiiki, ne batuuka ku ntaana, enjuba ng'evuddeyo. 3Baali bagambagana nti: “Ani anaatuyiringisizaawo ejjinja ku mulyango gw'entaana?” 4Bwe baatunula, ne balaba ng'ejjinja lyayiringisiddwawo; kubanga lyali ddene nnyo. 5Ne bayingira mu ntaana, ne balaba omuvubuka ng'atudde ku mukono ogwa ddyo, ng'ayambadde ekkanzu enjeru. Ne bawuniikirira. 6Ye n'abagamba nti: Muleke kusamaalirira nnyo; munoonya Yezu ow'e Nazareti eyakomererwa ku musaalaba, azuukidde, muno taliimu; mulabe ekifo mwe yabadde ateekeddwa. 7#Mat 26,32; Mar 14,28.Kale mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Petero nti: “Abeesooseeyo mu Galilaaya; eyo gye mulimulabira, nga bwe yabagamba.” 8Ne bafuluma, ne badduka mu ntaana; kubanga baali bakankana nga bawuniikiridde; ne batabuulira n'omu kintu; kubanga baali batidde.
Yezu alabikira abayigirizwa n'Abatume#16,8 Enny. 9-20. zaayongerwako luvannyuma nga Mariko amaze okuwandiika. Naye nazo Biwandiiko bitukuvu.
9 # Mat 28,9-10.16-20; Luk 24,13-51; Yow 20,11-23. Bwe yazuukira ku makya ku olwo olusooka mu wiiki, yasooka kulabikira Mariya ow'e Magudala gwe yali agobyemu emyoyo emibi omusanvu. 10Ye n'agenda n'abuulira abaabeeranga naye, abaali mu kunyolwa ne mu kukaaba. 11Naye bo bwe baawulira nti mulamu n'okumulaba amulabyeko, ne batakikkiriza.
12 # Luk 24,13-35. Oluvannyuma, n'alabikira mu nfaanana endala bannaabwe babiri abaali batambula nga bagenda mu kyalo. 13Era n'abo ne bagenda babuulira abalala, naye ne batabakkiriza.
14Oluvannyuma, n'alabikira bennyini ekkumi n'omu nga batudde balya. N'abavunaana obutakkiriza bwabwe n'obukakanyavu bw'emitima, kubanga baali bagaanyi okukkiriza bali abaali bamulabye ng'azuukidde. 15#Ebik 1,8.Era n'abagamba nti: “Mugende mu nsi yonna, mulangirire Evangili eri buli kitonde. 16Alikkiriza n'abatizibwa alirokoka; aligaana okukkiriza alisalirwa omusango okumusinga. 17Abalikkiriza obubonero buno bulibagenderako: mu linnya lyange baligoba emyoyo emibi, balyogera ennimi engwira; 18balikwata emisota, ne bwe balinywa obutwa, tebulibakola kabi, balissa emikono ku balwadde ne bawona.”
19 # Ebik 1,9-11. Omukama Yezu bwe yamala okwogera nabo, n'alinnyisibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20Bo ne bagenda ne bayigiriza buli wantu, Omukama ng'akolera wamu nabo, ebigambo byabwe ng'abikakasa n'obubonero obwabigenderangako.

Currently Selected:

Mar 16: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in