Amas 39:20-21
Amas 39:20-21 BIBU1
Mukama wa Yozefu n'akwata Yozefu n'amuggalira mu kkomera, abasibe ba kabaka mwe baakuumirwanga. Yozefu n'abeera eyo mu kkomera. Naye Omukama yali wamu ne Yozefu, n'amugirira ekisa, n'amuwa omukisa gwe ng'omukuumi w'ekkomera amuyisa bulungi.