Yokaana 16:22-23
Yokaana 16:22-23 LUG68
Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako. Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.