YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 7:7-9

Lukka 7:7-9 LBR

era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akikola.” Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti, “ Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.”