YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 45

45
Yusufu yeeraga eri baganda be
1Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti, “Mufulumye abantu bonna bave we ndi.” Ne watasigala muntu n'omu bwe yali nga yeeyoleka eri baganda be. 2N'akaaba n'eddoboozi ddene, Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira. 3Yusufu n'agamba baganda be nti, “Nze Yusufu; kitange akyali mulamu?” Baganda be ne batya nnyo, okulaba nga bayimiridde mu maaso ge, ne batayinza kumuddamu.#Bik 7:13 4Yusufu n'agamba baganda be nti, “Munsemberere, mbeegayiridde.” Ne basembera. N'ayogera nti, “Nze Yusufu, muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri.#Lub 37:28 5Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno; kubanga Katonda ye yankulembeza okubawonya mmwe mu kufa.#Lub 50:20, Zab 105:16,17 6Enjala yaakamala mu nsi emyaka ebiri; ate ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula.#Lub 41:30 7Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonya ne bazzukulu bammwe, muleme okufa mu ngeri ey'ekitalo. 8Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda; era ye yanfuula nga kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri.#Lub 41:43, 2 Bassek 5:22,23 9Kale mwanguwe, muddeyo eri kitange, mumugambe nti, Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti, Katonda yanfuula omufuzi wa Misiri yonna; Jjangu gye ndi awatali kulwa. 10Onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abazzukulu bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina.#Lub 46:34 11Nnaakulabiriranga ng'oli eyo; ggwe n'ab'omu maka go, ne byonna by'olina, oleme kwavuwala, kubanga wakyasigaddeyo emyaka emirala etaano (5) egy'enjala.#Lub 47:12 12Kaakano mmwe mwennyini mulaba, era ne muganda wange Benyamini alaba, nga nze Yusufu yennyini ayogera nammwe.#Lub 42:23 13Mubuulire kitange ekitiibwa kyange kyonna kye nnina mu Misiri, era mumutegeeze ne byonna bye mulabye; mwanguwe mumuleete wano.”#Bik 7:14 14Awo Yusufu n'agwa muganda we Benyamini mu kifuba n'akaaba amaziga; Benyamini naye n'akaabira mu kifuba kye. 15Yusufu n'anywegera baganda be bonna, nga bw'akaaba amaziga; n'oluvannyuma baganda be ne banyumya naye.
16Ebigambo bwe byatuuka mu lubiri lwa Falaawo nti, “baganda ba Yusufu bazze,” Falaawo n'abakungu be ne basanyuka nnyo. 17Falaawo n'agamba Yusufu nti, “Gamba baganda bo nti, ‘Mutikke ebintu ku nsolo zammwe, muddeyo mu nsi ya Kanani; 18muleete kitammwe n'ab'omu nnyumba zammwe, mujje ewange, nange ndibawa ettaka erisinga obugimu mu Misiri, era munaalyanga ebirungi eby'omu nsi eno.’#Lub 47:6 19Era balagire nti, ‘Mukole bwe muti: nga muva mu nsi ey'e Misiri, mugende n'amagaali kwe mulireetera abaana bammwe abato ne bakazi bammwe, mujje ne kitammwe. 20Era temweraliikirira kulekayo bintu byammwe, kubanga ebisinga obulungi mu nsi ey'e Misiri yonna biriba byammwe.’ ”
21Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo; Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo. 22Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza bisatu (300), n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano.#2 Bassek 5:22,23 23Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati: endogoyi kkumi (10) ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi (10) ezeetisse eŋŋaano n'emmere, n'eby'okulya kitaawe by'aliriira mu kkubo. 24Bw'atyo n'asiibula baganda be ne bagenda; n'abagamba nti, “Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo.” 25Ne bava e Misiri, ne baddayo e Kanani eri Yakobo kitaabwe. 26Ne bamugamba nti, “Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri,” n'azirika kubanga teyabakkiriza. 27Ne bamubuulira ebigambo byonna Yusufu bye yabagamba; bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumutwaliramu, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amaanyi.#Lub 45:19 28Isiraeri n'ayogera nti, “Kinaamala; Yusufu omwana wange akyali mulamu; nja kugenda okumulaba nga sinnafa.”

Currently Selected:

Olubereberye 45: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in