Abakkolosaayi 1:9-10
Abakkolosaayi 1:9-10 LBR
Naffe kyetuva tetulekaangayo kubasabira okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, nga tubeegayiririra mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo, era mutambulenga nga bwe kisaanira Mukama, nga mumusanyusa, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mweyongeranga mu kutegeera Katonda.