1
MARIKO 9:23
Luganda Bible 2003
Yesu n'amuddamu nti: “Ogambye nti: ‘Singa osobola?’ Manya nti byonna bisoboka, omuntu bw'aba n'okukkiriza.”
Compare
Explore MARIKO 9:23
2
MARIKO 9:24
Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!”
Explore MARIKO 9:24
3
MARIKO 9:28-29
Oluvannyuma, Yesu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?” Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.”
Explore MARIKO 9:28-29
4
MARIKO 9:50
Omunnyo gwa mugaso, naye singa gusaabulukuka, muyinza mutya okuguzzaamu obuka bwagwo? Mube n'omunnyo mu mpisa zammwe, era mutabagane.”
Explore MARIKO 9:50
5
MARIKO 9:37
“Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba tayanirizza nze, wabula aba ayanirizza oyo eyantuma.”
Explore MARIKO 9:37
6
MARIKO 9:41
Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.
Explore MARIKO 9:41
7
MARIKO 9:42
“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandimusingidde obulungi kwe kumusiba ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja.
Explore MARIKO 9:42
8
MARIKO 9:47
“Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira
Explore MARIKO 9:47
Home
Bible
Plans
Videos