Awo kabaka w'e Misiri bwe yamala okuleka abantu okugenda, Katonda n'atabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y'Abafilistiya, newaakubadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yagamba nti: “Sikulwa ng'abantu bakyusa ebirowoozo byabwe, ne baddayo e Misiri, bwe baliraba nga bateekwa okulwana.”