1
Luk 15:20
BIBULIYA ENTUKUVU
“N'ayimuka n'alaga eri kitaawe. Naye bwe yali akyali walako, kitaawe n'amulengera, n'akwatibwa ekisa, n'addukanako, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera.
Compare
Explore Luk 15:20
2
Luk 15:24
kubanga omwana wange ono yali afudde, azzeemu obulamu; yali azaaye, azaawuse.’ Ne batandika ekinyumu.
Explore Luk 15:24
3
Luk 15:7
Ka mbabuulire, essanyu bwe liriba lityo mu ggulu olw'omwonoonyi omu eyeenenya okusinga abatuukirivu ekyenda mu omwenda abateetaaga kwenenya.
Explore Luk 15:7
4
Luk 15:18
Ka nsituke ŋŋende eri kitange; nzija kumugamba nti: Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go
Explore Luk 15:18
5
Luk 15:21
Mutabani we n'amugamba nti: ‘Ssebo, nayonoona eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana na kuyitibwa mwana wo.’
Explore Luk 15:21
6
Luk 15:4
“Ani mu mmwe abeera n'endiga ekikumi, emu ku zo emala emubulako, ataleka ekyenda mu omwenda mu ddungu n'agoberera eri ebuze, okutuusa lw'agiraba?
Explore Luk 15:4
Home
Bible
Plans
Videos