1
Amas 37:5
BIBULIYA ENTUKUVU
Olumu Yozefu yaloota ekirooto, bwe yakinyumizaako baganda be, ne bamukyawa okusingawo.
Compare
Explore Amas 37:5
2
Amas 37:3
Yakobo yayagalanga Yozefu okusinga abaana be bonna, kubanga yali mwana we eyamuzaalirwa mu bukadde, n'amutungira ekkanzu ey'amajjolobera.
Explore Amas 37:3
3
Amas 37:4
Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga batabani be bonna, ne bamukyawa nga tebakyasobola kwogera naye mu ddembe.
Explore Amas 37:4
4
Amas 37:9
Yalootayo n'ekirooto ekirala n'akinyumiza baganda be nti: “Mu kirooto nalabye enjuba, omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binsinza.”
Explore Amas 37:9
5
Amas 37:11
Olw'ekyo baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye ye kitaawe ekigambo ekyo n'akikuuma mu birowoozo.
Explore Amas 37:11
6
Amas 37:6-7
Yabagamba nti: “Muwulire ekirooto kyange kye naloose: Twabadde tusiba emiganda gy'eŋŋano mu nnimiro, ogwange amangu ago ne gusituka ne gwesimba, egyammwe emiganda ne gigwetooloola ne giguvunnamira.”
Explore Amas 37:6-7
7
Amas 37:20
Mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe yamulya.’ Kale tuliraba ekiriva mu birooto bye.”
Explore Amas 37:20
8
Amas 37:28
Abasuubuzi Abamidiyaani baali bayitawo, ne basikayo Yozefu mu kinnya, ne bamuguza Abayisimayeli ebitundu bya ffeeza amakumi abiri. Bo ne bamutwala mu Misiri.
Explore Amas 37:28
9
Amas 37:19
Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja.
Explore Amas 37:19
10
Amas 37:18
Bwe yali akyaliko wala ne bamulengera; yali tannabatuuka ne basala olukwe bamutte.
Explore Amas 37:18
11
Amas 37:22
Rubeni n'agamba nti: “Tuleme kumutta. Muleme kuyiwa musaayi; mumusuule mu kinnya kino ekiri mu ddungu, naye temumussaako mukono gwammwe.” Yali ayagala kumuggya mu mikono gyabwe amuddize kitaawe.
Explore Amas 37:22
Home
Bible
Plans
Videos