1
Malaki 3:10
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.
Compare
Explore Malaki 3:10
2
Malaki 3:11-12
Era ndinenya omuli ku lwammwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Explore Malaki 3:11-12
3
Malaki 3:17-18
Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza. Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.
Explore Malaki 3:17-18
4
Malaki 3:1
Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja bw'ayogera Mukama w'eggye
Explore Malaki 3:1
Home
Bible
Plans
Videos