1
Lukka 13:24
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza.
Compare
Explore Lukka 13:24
2
Lukka 13:11-12
Era, laba, omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ekkumi n'omunaana; ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono. Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo.
Explore Lukka 13:11-12
3
Lukka 13:13
N'amussaako emikono, amangu ago n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda.
Explore Lukka 13:13
4
Lukka 13:30
Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.
Explore Lukka 13:30
5
Lukka 13:25
Nannyini nnyumba bw'alimala okugolokoka, n'aggalawo oluggi, ne musooka okuyimirira ebweru, n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva
Explore Lukka 13:25
6
Lukka 13:5
Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo.
Explore Lukka 13:5
7
Lukka 13:27
kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu.
Explore Lukka 13:27
8
Lukka 13:18-19
Kyeyava agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era nnaabufaananya na ki? Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.
Explore Lukka 13:18-19
Home
Bible
Plans
Videos