Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange. N'amugamba nate omulundi ogw'okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Lundanga endiga zange. N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange.