1
Okubikkulirwa 21:4
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”
Compare
Explore Okubikkulirwa 21:4
2
Okubikkulirwa 21:5
Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”
Explore Okubikkulirwa 21:5
3
Okubikkulirwa 21:3
Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
Explore Okubikkulirwa 21:3
4
Okubikkulirwa 21:6
N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa.
Explore Okubikkulirwa 21:6
5
Okubikkulirwa 21:7
Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.
Explore Okubikkulirwa 21:7
6
Okubikkulirwa 21:8
Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”
Explore Okubikkulirwa 21:8
7
Okubikkulirwa 21:1
Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo.
Explore Okubikkulirwa 21:1
8
Okubikkulirwa 21:2
Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.
Explore Okubikkulirwa 21:2
9
Okubikkulirwa 21:23-24
Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa.
Explore Okubikkulirwa 21:23-24
Home
Bible
Plans
Videos