N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.