1
Makko 9:23
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
Compare
Explore Makko 9:23
2
Makko 9:24
Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
Explore Makko 9:24
3
Makko 9:28-29
Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?” N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
Explore Makko 9:28-29
4
Makko 9:50
“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”
Explore Makko 9:50
5
Makko 9:37
“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
Explore Makko 9:37
6
Makko 9:41
Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
Explore Makko 9:41
7
Makko 9:42
“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja.
Explore Makko 9:42
8
Makko 9:47
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi
Explore Makko 9:47
Home
Bible
Plans
Videos