1
Makko 4:39-40
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala. N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”
Compare
Explore Makko 4:39-40
2
Makko 4:41
Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
Explore Makko 4:41
3
Makko 4:38
Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”
Explore Makko 4:38
4
Makko 4:24
Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza.
Explore Makko 4:24
5
Makko 4:26-27
Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi.
Explore Makko 4:26-27
6
Makko 4:23
Alina amatu agawulira awulire.
Explore Makko 4:23
Home
Bible
Plans
Videos