1
Lukka 19:10
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
Compare
Explore Lukka 19:10
2
Lukka 19:38
“Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”
Explore Lukka 19:38
3
Lukka 19:9
Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.
Explore Lukka 19:9
4
Lukka 19:5-6
Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.” Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.
Explore Lukka 19:5-6
5
Lukka 19:8
Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
Explore Lukka 19:8
6
Lukka 19:39-40
Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!” Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”
Explore Lukka 19:39-40
Home
Bible
Plans
Videos