1
Yokaana 8:12
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
Compare
Explore Yokaana 8:12
2
Yokaana 8:32
Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”
Explore Yokaana 8:32
3
Yokaana 8:31
Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.
Explore Yokaana 8:31
4
Yokaana 8:36
Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.
Explore Yokaana 8:36
5
Yokaana 8:7
Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.”
Explore Yokaana 8:7
6
Yokaana 8:34
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi.
Explore Yokaana 8:34
7
Yokaana 8:10-11
Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?” Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.” Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
Explore Yokaana 8:10-11
Home
Bible
Plans
Videos