1
Yokaana 5:24
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
Compare
Explore Yokaana 5:24
2
Yokaana 5:6
Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
Explore Yokaana 5:6
3
Yokaana 5:39-40
Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
Explore Yokaana 5:39-40
4
Yokaana 5:8-9
Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.” Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
Explore Yokaana 5:8-9
5
Yokaana 5:19
Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola.
Explore Yokaana 5:19
Home
Bible
Plans
Videos