1
Yokaana 3:16
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
Compare
Explore Yokaana 3:16
2
Yokaana 3:17
Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
Explore Yokaana 3:17
3
Yokaana 3:3
Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
Explore Yokaana 3:3
4
Yokaana 3:18
Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda.
Explore Yokaana 3:18
5
Yokaana 3:19
Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi.
Explore Yokaana 3:19
6
Yokaana 3:30
Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.
Explore Yokaana 3:30
7
Yokaana 3:20
Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.
Explore Yokaana 3:20
8
Yokaana 3:36
Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
Explore Yokaana 3:36
9
Yokaana 3:14
Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa
Explore Yokaana 3:14
10
Yokaana 3:35
Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe.
Explore Yokaana 3:35
Home
Bible
Plans
Videos