1
Olubereberye 37:5
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Lumu Yusufu n’aloota ekirooto, n’agenda n’akitegeeza baganda be, ne beeyongera nnyo okumukyawa.
Compare
Explore Olubereberye 37:5
2
Olubereberye 37:3
Bw’atyo Isirayiri n’ayagala nnyo Yusufu okusinga abaana be abalala, kubanga nga ye mwana ow’omu bukadde bwe; n’amutungira ekyambalo eky’amabala amangi.
Explore Olubereberye 37:3
3
Olubereberye 37:4
Naye baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bo ne bakyawa Yusufu, ne batayinza na kwogera naye na kisa.
Explore Olubereberye 37:4
4
Olubereberye 37:9
Ate n’aloota ekirooto ekirala n’akitegeeza baganda be, n’agamba nti, “Ndoose ekirooto ekirala: ne ndaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye ekkumi n’emu nga binvuunamira.”
Explore Olubereberye 37:9
5
Olubereberye 37:11
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya, kyokka ye kitaabwe n’akuuma ekigambo ekyo mu mutima gwe.
Explore Olubereberye 37:11
6
Olubereberye 37:6-7
Yabagamba nti, “Muwulire ekirooto kino kye naloose. Twali tusiba ebinywa by’eŋŋaano nga tuli mu nnimiro, ekinywa kyange ne kiyimuka ne kiyimirira; laba ebinywa byammwe ne bikyebungulula ne bikivuunamira.”
Explore Olubereberye 37:6-7
7
Olubereberye 37:20
Kale mujje tumutte, tumusuule mu kimu ku binnya; tuligamba nti, ‘Ensolo enkambwe ye yamulya; tulabe ebirooto bye bwe birituukirira.’ ”
Explore Olubereberye 37:20
8
Olubereberye 37:28
Abasuubuzi, Abayisimayiri bwe baabatuukako ne baggya Yusufu mu bunnya, ne bamuguza Abayisimayiri. Baamubaguza ebitundu bya ffeeza amakumi abiri; ne bamutwala e Misiri.
Explore Olubereberye 37:28
9
Olubereberye 37:19
Ne bagambagana nti, “Sekalootera wuuyo ajja.
Explore Olubereberye 37:19
10
Olubereberye 37:18
Baganda be ne bamulengera ng’akyali wala, era bwe yali nga tannabasemberera ne bateesa bamutte.
Explore Olubereberye 37:18
11
Olubereberye 37:22
Tuleme kuyiwa musaayi; ka tumusuule mu bunnya buno wano mu nsiko. Temumuteekako mukono gwammwe.” Yayogera bw’atyo alyoke amuwonye mu mikono gyabwe, amuddize kitaawe.
Explore Olubereberye 37:22
Home
Bible
Plans
Videos