1
Ebikolwa byʼAbatume 17:27
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
Yakola bw’atyo ng’ayagala abantu bonna banoonye Katonda, nga bafuba okumuvumbula, okumutuukako, newaakubadde nga buli omu ku ffe tamuli wala.
Compare
Explore Ebikolwa byʼAbatume 17:27
2
Ebikolwa byʼAbatume 17:26
Ye yatonda abantu bonna mu nsi, ng’abaggya mu muntu omu, n’abasaasaanya mu mawanga okubuna ensi yonna. N’ateekateeka amawanga agalisituka n’agaligwa, era n’ebbanga lye galimala. Era n’agakolera n’ensalo zaago.
Explore Ebikolwa byʼAbatume 17:26
3
Ebikolwa byʼAbatume 17:24
“Katonda oyo ye yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu. Era olwokubanga ye Mukama w’eggulu n’ensi tabeera mu yeekaalu ezikolebwa n’emikono gy’abantu
Explore Ebikolwa byʼAbatume 17:24
4
Ebikolwa byʼAbatume 17:31
Kubanga yateekawo olunaku, oyo gwe yalonda lw’alisalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya. Era yamukakasa eri abantu bonna kubanga yamuzuukiza mu bafu.”
Explore Ebikolwa byʼAbatume 17:31
5
Ebikolwa byʼAbatume 17:29
“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.
Explore Ebikolwa byʼAbatume 17:29
Home
Bible
Plans
Videos