1
Matayo 11:28
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.
Compare
Explore Matayo 11:28
2
Matayo 11:29
Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima, nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
Explore Matayo 11:29
3
Matayo 11:30
Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.”
Explore Matayo 11:30
4
Matayo 11:27
Ebintu byonna byankwasibwa Kitange; so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumumubikkulira.
Explore Matayo 11:27
5
Matayo 11:4-5
Yesu n'abaddamu nti, “Muddeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba; abazibye amaaso balaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
Explore Matayo 11:4-5
6
Matayo 11:15
Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
Explore Matayo 11:15
Home
Bible
Plans
Videos