1
Lukka 12:40
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.”
Compare
Explore Lukka 12:40
2
Lukka 12:31
Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako.”
Explore Lukka 12:31
3
Lukka 12:15
N'abagamba nti, “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.”
Explore Lukka 12:15
4
Lukka 12:34
Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera.”
Explore Lukka 12:34
5
Lukka 12:25
Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera wadde ekiseera ekitono ku bulamu bwe?
Explore Lukka 12:25
6
Lukka 12:22
N'agamba abayigirizwa be nti, “ Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.
Explore Lukka 12:22
7
Lukka 12:7
Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe muli ba muwendo okusinga enkazaluggya ennyingi.”
Explore Lukka 12:7
8
Lukka 12:32
“Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka.
Explore Lukka 12:32
9
Lukka 12:24
Mulowooze bannamuŋŋoona, tebasiga so tebakungula; tebalina tterekero, newakubadde eggwanika; naye Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi?
Explore Lukka 12:24
10
Lukka 12:29
Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa.
Explore Lukka 12:29
11
Lukka 12:28
Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
Explore Lukka 12:28
12
Lukka 12:2
Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa.
Explore Lukka 12:2
Home
Bible
Plans
Videos