Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama,
okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama,
okuba abaddu be,
buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona,
n'anyweza endagaano yange;
abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu,
ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu;
ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe
birikkirizibwa ku kyoto kyange:
kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu
eri amawanga gonna.